Psalms 27:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Njigiriza ekkubo lyo, ayi Mukama; nkulembera mu kakubo akagolokofu, olw'okubeera abannyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole, era onkulembere mu kkubo lyo, kubanga abalabe bange banneetoolodde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onjigirizenga ekkubo lyo, ayi Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu kakubo akaterevu, Kubanga nnina abalabe bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, njigiriza ekkubo ly'oyagala nkwate, nkulembera mu kakubo akatereevu, kubanga nnina abalabe bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, Olw'abalabe bange.