Psalms 27:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tompaayo ng'abambonyaabonya bwe beegomba, kubanga abajulirwa ab'obulimba bansitukiddemu, bassa mukka gwa bukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tompaayo mu balabe bange, kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe, okunkambuwalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala, Bannumba nga bampaayiriza, nga bajjudde obukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tompaayo mu balabe bange, abannumba nga bampaayiriza, era nga bajjudde obukambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala: Kubanga abawaayiriza bangolokokeddeko, n'abo abassa omukka ogw'obukambwe.