Psalms 27:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kimu kyokka kye nsaba ew'Omukama, nnoonya kino: nsule mu nnyumba y'Omukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, neerolerenga obulungi bw'Omukama, neebuuzenga mu Kiggwa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okumwebuuzangako mu Yeekaalu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye nsabye Mukama, era kye nnoonya, kiri kimu kyokka: obulamu bwange bwonna, ntunuulirenga obulungi bwe, era mmwebuuzengako mu Ssinzizo lye;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okubuuzanga mu yeekaalu ye.