Psalms 27:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga alinkweka mu weema ye ku lunaku olw'akabi; alinkisa mu bwewogomo bw'ensiisira ye, alimpanika waggulu ku lwazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mu biseera eby’obuzibu anansuzanga mu nju ye; anankwekanga mu weema ye, n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye. Ali nkweka mu weema ye aweekusifu, Waggulu ku lwazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mu biseera eby'obuyinike alinkweka omumwe, alinteeka waggulu ku lwazi olwekusifu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi.