Psalms 27:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kati omutwe gwange ngusooloobya ku balabe bange abanneetoolodde. Ku weema ye nzija kutambiririrayo ebitambiro mu mizira egy'essanyu; Nzija kuyimba, nkooloobeze Omukama ettendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo ononnyimusanga waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde. Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu; nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwentyo bwe n'awangula abalabe bange abanneetooloodde. Era n'awaayo mu weema ye ssaddaaka nga nsanyuka, Ne nnyimba ne ntendereza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ndiwangula abalabe bange abanneetoolodde. Ndiwaayo ebitambiro mu Ssinzizo lye, nga njaguza. Ndiyimba ne ntendereza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano omutwe gwange gunaayimusibwa ku balabe bange abanneetoolodde; Era naawaayo mu weema ye ssaddaaka ez'okusanyuka; Naayimbanga, weewaawo, naayimba okutendereza Mukama.