Psalms 27:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuliriza, ayi Mukama, eddoboozi lyange bwe nkulaajanira; nsaasira, era onziremu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola; onkwatirwe ekisa onnyanukule!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wulira, ayi Mukama, okukaaba kwange, Onsaasire, onziremu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, wulira okukaaba kwange, nkwatirwa ekisa, onziremu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wulira, ai Mukama, bwe nkaaba n'eddoboozi lyange: Era onsaasire, onziremu.