Psalms 27:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwange gwagamba ku ggwe nti: “Munoonye amaaso ge.” Amaaso go, ayi Mukama, ge nnoonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.” Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wagamba nti, “Munoonye amaaso gange,” omutima gwange gwakugamba nti, “Ggwe gwe nnaannoonyanga”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wagamba nti: “Munnoonye”, naddamu nti: “Ayi Mukama, Gwe gwe nnoonya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wagamba nti Munoonye amaaso gange; omutima gwange gwakugamba nti Amaaso go, Mukama, naaganoonyanga.