Psalms 27:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tonkweka maaso go; omuweereza wo tomugobaganya mu busungu bwo. Ggwe buyambi bwange, tonsuula; tonsindiikiriza eri, ayi Katonda, Mulokozi wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tonneekweka, so tonyiigira muweereza wo, kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo. Tonneggyaako, so tonsuula, Ayi Katonda, Omulokozi wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tonneekweka. Togoba muddu wo mu busungu. Ggwe obadde omuyambi wange, Tonsuula, era tondeka, ayi Katonda Omulokozi wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tonneekweka. Nze omuweereza wo tongoba ng'osunguwadde. Ggwe muyambi wange, tonsuula, era tonjabulira, ayi Katonda Omulokozi wange!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonkisa amaaso go; Togoba muddu wo mu busungu: Ggwe wabeeranga omubeezi wange; Tonsuula, so tondeka, ai Katonda ow'obulokozi bwange.