Psalms 28:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tompalaawalira kumu n'ababi, awamu n'abo abakola obubi, aboogeza eddembe ne bannaabwe, sso nga baterese bukyayi mu mutima gwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tontwalira mu boonoonyi, abakola ebibi; abanyumya obulungi ne bannaabwe, so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tontwalira mu boonoonyi, N'abo abakola ebibi, Aboogera ne bannaabwe eby'emirembe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tontwalira mu boonoonyi, mu abo abakola ebibi, aboogera ne bannaabwe eby'emirembe, sso ng'obukyayi bwe buli mu mitima gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tompalulira wamu n'ababi, N'abo abakola obutali butuukirivu; Aboogera eby'emirembe ne bannaabwe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.