Psalms 28:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baweere ng'ebikolwa byabwe bwe biri, ng'ogerera ku bikolwa byabwe ebibi. Basasule ng'emikono gyabwe bwe gyakola; baddize nga bwe baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri, n’olw’ebyambyone bye bakoze. Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza, obabonereze nga bwe basaanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obabonereze ng'emirimu gyabwe bwe giri, era ng'obubi bwabwe bwe buli. Bawe empeera Esaanira emirimu gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe babonereze olw'ebikolwa byabwe, ng'ogerera ku bibi bye bakola. Bawe empeera esaanira emirimu gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obawe ng'emirimu gyabwe bwe giri era ng'obubi obw'ebikolwa byabwe: Obawe ng'emikono gyabwe bwe gikola; Obasasule bye basaanidde.