Psalms 28:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ge maanyi gange, engabo yange; omutima gwange gwamwesiga, ne nnyambibwa; Omutima gwange gujaguza; Nzija kumwebaza n'oluyimba lwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange. Omutima gwange gumwesiga, annyamba. Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo, Nnaayimbanga okumutendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye ampa amaanyi, era ye antaasa, mmwesiga. Annyamba ne nsanyuka, nnyimba okumutendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo; Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange.