Psalms 28:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ge maanyi g'abantu be; kye kigo ky'obulokofu bw'omusiige we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama y’awa abantu be amaanyi, era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ge maanyi g'abantu be, Kye kinnunulo eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye awa abantu be amaanyi, ye ataasa n'awonya omusiige we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ge maanyi gaabwe, Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.