Psalms 29:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddoboozi ly'Omukama lizingazinga emivule; liwaatuza amabira. Mu Kiggwa kye bonna basaakaanya nti: “Ekitiibwa!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amakoola g'amabira. Era mu Yeekaalu ye buli kintu kyogera nti, “Ekitiibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi lya Mukama liyuuguumya emivule, likunkumulira ddala amakoola g'amabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amabira, Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa.