Psalms 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sijja kutya nkumi za bantu abasituse okunnwanyisa ku njuyi zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimuka, Ayi Mukama, ondokole, Ayi Katonda wange: Kubanga okuba abalabe bange bonna ku ttama, N'omenya amannyo g'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, jjangu ondokole, ayi Katonda wange! Ggwe okuba abalabe bange empi ku ttama, n'omenya amannyo g'aboonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange: Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama, Wamenya amannyo g'ababi.