Psalms 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situka, ayi Mukama! Mponya, Katonda wange! Kubanga abalabe bange bonna wabakuba ku nsolobotto; wamenya amannyo g'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulokozi buva eri Mukama, omukisa gwo gubeere ku bantu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, era ggwe olokola, n'owa abantu bo omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera)