Psalms 30:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Magoba ki agaliva mu kuzikirira kwange, mu kukkirira mu bunnya? Kazzi nfuufu y'erikutenda, y'erirangirira obwesigwa bwo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire; Ayi Mukama, onnyambe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wulira, ayi Mukama, onkwatirwe ekisa, Ayi Mukama, beera omubeezi wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wulira, ayi Mukama onkwatirwe ekisa, ayi Mukama, onnyambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wulira, ai Mukama, onsaasire: Mukama, ggwe beera omubeezi wange.