Psalms 30:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyimbire Omukama amatendo, mmwe abatuukirivu be; mugulumize erinnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obusungu bwe bwa kaseera buseera, Ekisa kye kya bulamu bwaffe bwonna. Amaziga gayinza okukulukuta ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusungu bwe buba bwa kaseera buseera, ekisa kye kya bulamu bwaffe bwonna. Amaziga agayiika mu kiro, gaddirirwa ssanyu mu makya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.