Psalms 30:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga obusungu bwe bumala akabanga katono, naye okwagala kwe kwa bulamu bwonna. Bwe buziba, ebiwoobe biyinza okusigala ekiro kyonna, naye essanyu lidda ku maliiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe namala okunywera ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze bwe nali obulungi ne njogera nti, “Sirisagaasagana n'akatono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali obulungi ne ŋŋamba nti: “Sirinyeenyezebwa n'akatono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti Sirisagaasagana emirembe gyonna.