Psalms 30:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nali emirembe, nagamba nti: “Tewali kirinnyeenya emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, bwe wanjagala, wanyweza olusozi lwange; naye bwe wankweka amaaso go ne neeraliikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kisa kyo, ayi Mukama, Wali onnywezezza ng'olusozi. Naye bwe wanneekisa, ne nneeraliikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kisa kyo, ayi Mukama, wali onnywezezza ng'olusozi. Naye bwe wanneekisa, ne neeraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe, Mukama, mu kisa kyo wali onywezezza olusozi lwange: N'okisa amaaso go; ne nneeraliikirira.