Psalms 30:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakoowoola gy'oli, ayi Mukama; nalaajanira Omukama:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya ne nzikirira? Enfuufu eneekutenderezanga n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale onoogasibwa ki nganfudde, nga nzikiridde emagombe? Enfuufu eneekutenderezanga? Eneetegeezanga obwesigwa bwo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe nnaafa, onoogasibwa ki nga nzikiridde emagombe? Enfuufu eneekutenderezanga? Era eneekulangiriranga nga bw'oli omwesigwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya? Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go?