Psalms 31:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaasira, ayi Mukama, kubanga ndi mu buyinike; amaaso gakutte ekifu olw'ennaku, omwoyo gwange n'olubuto lwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange ne giggwaawo olw’okusinda. Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange, n’amagumba ganafuye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obulamu bwange mbumaze mu buyinike. n'emyaka gyange ngiyiseemu mu kusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'obuyinike bwange, n'amagumba gange gakozze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga obulamu bwange mbumaze mu buyinike. Emyaka gyange ngiyiseemu mu kusinda. Amaanyi gampweddemu olw'obuyinike bwange, n'amagumba gange gennyini gakozze!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obulamu bwange buyita n'okutegana, n'emyaka gyange giyita n'okusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'okwonoona kwange, n’amagumba gange gakozze.