Psalms 31:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obulamu bwange buggwereredde olw'ennaku, n'emyaka gyange olw'okusinda. Amaanyi gange gakendedde olw'obunaku, n'amagumba gange ganafuye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe bange bonna bansekerera, banneetamiddwa. Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange, n’abandaba mu kkubo banziruka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bange bonna bangaya, Baliraanwa bange banneenyinyala. mikwano gyange bantya, Bwe bandaba mu kkubo, banziruka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe bange bonna bangaya, baliraanwa bange banneenyinyala. Mikwano gyange bantya, bwe bandaba mu kkubo, banziruka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lw'abalabe bange bonna nfuuse ekivume, Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange: Abandaba mu kkubo ne banziruka.