Psalms 31:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabaggwa ku mutima, ne banneerabira ng'eyafa; nfuuse ng'ekibya ekyatifu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli ludda mpulirayo obwama nga bangeya; bye banteesaako nga basala olukwe okunzita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mpulira bangi nga beegeya, Ensisi ne nnetooloola. Bwe baali bateesa ebigambo ku nze, Nga basala amagezi okunzigyako obulamu bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpulira bangi nga beegeya, entiisa enneetoolodde wonna. Bateeseza wamu ku nze, nga basala amagezi okunzita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nawulira okuwaayiriza kw'abangi, Ensisi yanneetooloola: Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze, Ne basala amagezi okunziyako obulamu bwange.