Psalms 31:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, tondeka kuswala, kubanga nkukoowoodde; bo ababi baswale basirikire emagombe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba kasirisibwe, kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo, nga babyogeza amalala n’okunyooma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buniza emimwa gy'abalimba, Aboogera obubi ku batuukirivu bo, N'amalala n'okunyooma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buniza emimwa gy'abalimba abo, aboogera obubi ku batuukirivu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa egy'obulimba gisiruwalenga; Egyogera ku batuukirivu n'ekyejo, N'amalala n'okunyooma.