Psalms 31:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emimwa egy'obulimba gibunire, egyogeza olunkulu, okwekuza n'obunyoomi ku mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulungi bwo, bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu, n’obuwa mu lwatu abo abaddukira gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirungi byo nga bingi bye waterekera abakussaamu ekitiibwa! Abantu bonna balaba by'okolera abakwesiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!