Psalms 31:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, nzirukidde gy'oli; tondekanga kuswala mirembe gyonna; mu butuukirivu bwo ndokola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ontegere okutu kwo oyanguwe okunziruukirira. Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ontegere okutu kwo, yanguya okundokola. Beera gye ndi olwazi olw'amaanyi, ekigo ekya maanyi ondokole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntegera okutu, yanguwa okumponya. Beera ekiddukiro kyange, onkuume. Nzibira, ondokole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola: Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,