Psalms 31:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisa kyo nga kingi, ayi Mukama, kye waterekera abakutya, ky'ogirira mu maaso g'abantu abo abaddukira gy'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe, n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo, n’ennyombo z’abantu ne zitabatuukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obakweka gy'oli, n'obawonya enkwe z'abantu. Obakuumira aweekusifu, ne bawona okuvumibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obakweka gy'oli, n'obawonya enkwe z'abantu. Obakuumira aweesiifu, ne bawona okuvumibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gy'oli awakwekebwa w'onoobakisanga enkwe z'abantu: Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba.