Psalms 31:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kutya kwange ne ŋŋamba nti: “Nsaliddwa ku maaso go.” Naye wawulira eddoboozi ly'okuwanjaga kwange nga nkulaajanira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna! Mukama akuuma abo abamwesiga, naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Naye abeekulumbaza ababonereza nga bwe basaanidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagale Mukama mmwe mwenna abantu be abeesigwa. Mukama akuuma abamwesiga, naye abeekulumbaza ababonereza nga bwe basaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Era asasulira ddala mu bungi akola eby'amalala.