Psalms 31:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wunzikira gye ndi okutu kwo; yanguwa onnyambe; mbeerera lwazi lwa buddukiro, ekigo ekinywevu okumponya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange; olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ggwe kiddukiro kyange, ggwe onzibira. Nkuuma onkulembere, nga bwe wasuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.