Psalms 31:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndijaganya ne nsanyukira mu kisa kyo, kubanga walaba obunaku bwange, wamanya okunyolwa kw'omwoyo gwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tompaddeeyo mu balabe bange, naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewandeka kukwatibwa mulabe, Wampa eddembe okutambula yonna gye njagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewandeka kuwambibwa mulabe, wampa eddembe okutambula yonna gye njagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw'omulabe; Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi.