Psalms 31:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewampaayo mu mikono gya mulabe, wabula ebigere byange wabiyimiriza mu kyererezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olw’ennaku; omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onsaasire, ayi Mukama, kubanga zinsanze! Amaaso gange gakooye olw'amaziga, nzigwereddemu ddala amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, nkwatirwa ekisa, kubanga zinsanze! Amaaso gange gakooye olw'amaziga, nzigwereddemu ddala amaanyi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze: Eriiso lyange liweddemu olw'okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n'omubiri gwange.