Psalms 32:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti omukono gwo gwannyigirizanga emisana n'ekiro; amaanyi gange ne gakalira ng'agookeddwa ebbugumu ly'ekyeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wambonerezanga emisana n’ekiro, amaanyi ne ganzigwamu ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wambonerezanga emisana n'ekiro, Amaanyi gange ne ganzigweramu ddala ng'amazzi bwe gakalira mu kyeya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga wambonerezanga emisana n'ekiro, amaanyi ne ganzigweramu ddala ng'amazzi bwe gakala mu kyeya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga emisana n'ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga: Amazzi gange ne gakaliranga ng'olw'omusana ogw'ekyeya.(Seera)