Psalms 32:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mutuufu yenna kyaliva yeegayirira gy'oli, mu budde obw'obuyinike; amazzi enkuyanja bwe galifumbukuka, tegalimutuukako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa bakwegayirire ng’okyalabika; oluvannyuma ebizibu bwe birijja, ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olw'ekyo buli atya Katonda akusabenga ng'ali mu biseera ebizibu. Ennaku ne bw'eryalaala ng'amazzi amangi, terimutuukako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muweereza wo kyanaavanga akwegayirira ng'ali mu biseera ebizibu. Ennaku ne bw'eryalaala ng'amazzi, terimutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lw'ekyo buli atya Katonda akusabenga mu biro by'oyinza okulabikiramu: Mazima mu ntaba ez'amazzi amangi tebalituuka gy'ali.