Psalms 32:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikubuulira ne nkuyigiriza ekkubo ly'oba okwata; ndikubuulirira ne nkussaako amaaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama agamba nti, “Nnaakuyigirizanga ne nkulaga ekkubo ly'onooyitangamu. Nnaakubuuliriranga, ne nkulabirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndikuyigiriza ne nkulaga ekkubo ly'onookwatanga. Nnaakubuuliriranga, ne nkulabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naakuyigirizanga naakulanganga mu kkubo ly'onooyitangamu: Naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.