Psalms 33:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embalaasi bwe kubanga kuwonya, temuli kantu; n'amaanyi gaayo amangi gatyo tesobola kununula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere; newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embalaasi tegasa okuwangula, Ne bw'eba ey'amaanyi ennyo, si ye ewonya omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embalaasi tegasa okuwangula. Ne bw'eba ey'amaanyi ennyo, si ye ewonya omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi.