Psalms 33:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Go amaaso g'Omukama gali ku bamutya; ku abo abeesiga ekisa kye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya; abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubirira mu kusaasira kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama atunuulira abamussaamu ekitiibwa. Atunuulira abeesiga ekisa kye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe;