Psalms 33:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggulu lyakolebwa na kigambo kya Katonda, ne nnamunkukumbo w'eggulu yakolebwa n'omukka gw'akamwa ke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa; n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yalagira, eggulu ne litondebwa, Ne byonna ebirimu byakolebwa na kigambo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yalagira, eggulu ne litondebwa, ebiririmu byonna byakolebwa na kigambo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwake.