Psalms 34:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empologoma zandibulwa akantu n'enjala n'eziruma, naye abanoonya Omukama tebalibulwa kirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujje wano baana bange, mumpulirize; mbayigirize okutya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mujje, baana bange, mumpulire, Mbayigirize okutya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujje baana bange, muntegere amatu, mbayigirize okussaamu Mukama ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: Naabayigirizanga okutya Mukama.