Psalms 34:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulegeeko mulabe Omukama bw'ali omulungi, omuntu amwesiga yeesiimye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be, kubanga abamutya tebaajulenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be, Kubanga tebabulwa kintu abamutya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abaweereza be, kubanga abamussaamu ekitiibwa tebajula kantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: Kubanga tebabulwa kintu abamutya.