Psalms 35:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ya Dawudi. Ayi Mukama, vunaana abanvunaana, lwanyisa abannwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya, lwanyisa abo abannwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, wakana n'abo abawakana nange, Lwana n'abo abalwana nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, wakanya abampakanya, olwane n'abannwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange.