Psalms 35:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagumba gange gonna galigamba nti: “Ayi Mukama, ani akufaanana?” Ggwe awonya omunaku mu mikono gy'abamusinga amaanyi, omunaku n'omwavu mu mikono gy'ababanyaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagumba gange galyogera nti, “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama? Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi, n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omutima gwange gwonna ndigamba nti, “Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omunafu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu eri oyo amunyagako ebibye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amaanyi gange gonna ndigamba Mukama nti: “Ayi Mukama, teri akwenkana ggwe! Omunafu omuwonya abamusinza ennyo amaanyi, omwavu omuwonya abamunyagako ebibye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga?