Psalms 35:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso bwe baali balwadde, nayambala ekikutiya, ne neebonereza nga nsiiba. Neegayiriranga nga nkotese omutwe ku lubuto lwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu, ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe, naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bo bwe baalwala, n'ayambala ebibukutu, Ne nnebonereza nga nsiiba, Ne nsaba Katonda nga nkutamizza omutwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bo bwe baalwala, nayambala ekikutiya, ne nneebonereza nga nsiiba, ne nsaba Katonda nga nkutamizza omutwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze, bwe baalwala, nayambala bibukutu: Ne nteganya emmeeme yange n'okusiiba; N'okusaba kwange ne kudda mu kifuba kyange.