Psalms 35:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe nasirittuka, baasanyuka busanyusi, bankuŋŋaanirako ne bankuba nga sikirindiridde, ne bampaayiriza awatali kusalako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse; ne bannumba nga simanyi, ne bampayiriza obutata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze bwe n'agwa ku kizibu ne basanyuka, ne bakuŋŋaana okunsekerera. Ne be simanyi, Ne banjeyereza obutasalako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze bwe nagwa ku kizibu ne basanyuka, ne bakuŋŋaana okunsekerera. Ne be simanyi ne bankuba awatali kuweera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe nnawenyera nze, ne basanyuka, ne bakuŋŋaana: Abagwagwa ne bankuŋŋaanirako, ne ssimanya; Ne banjuza, ne batalekaayo: