Psalms 35:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, onootuusa wa okutunula obutunuzi? Ntaasa obukambwe bwabwe, n'obulamu bwange buno bwokka buwonye empologoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi? Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa, obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Mponya abaagala okunzita. Obulamu bwange buwonye empologoma zino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, olituusa wa okutunuulira obutunuulizi? Mponya abaagala okunzita. Obulamu bwange buwonye empologoma zino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Wonya emmeeme yange mu kuzikiriza kwabwe, Kaganzi kange mu mpologoma.