Psalms 35:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Banjasamiza akamwa kaabwe; bagamba nti: “K'olabe, k'olabe! Twerabiddeko n'agaffe!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti, “Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannumiriza nga baleekaana nti, “Twalaba kye wakola!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bannumirizza nga baleekaana nti: “Twalaba kye wakola!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era banjasaamiririra ddala akamwa kaabwe; Ne boogera nti Ggwe, ggwe, eriiso lyaffe lyakiraba.