Psalms 35:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamula ng'ogerera ku butuukirivu bwo, ayi Mukama Katonda wange, era tobaleka kunneeyagalirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange, tobaganya kunneeyagalirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sala omusango gwange, Ayi Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; Toganya balabe bange kunneewaanirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, sala omusango gwange, nga bw'oli omwenkanya, era toleka balabe bange kunneewaanirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onsalire omusango, ai Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; So tobaganya kunsanyukirako;