Psalms 35:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasanyukira mu kwejjeerera kwange baleekaane olw'essanyu, bajaganye; bulijjo bagambe nti: “Omukama atenderezebwe, eyeeyagalira mu ssanyu ly'omuweereza we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abasanyuka ng’annejjeereza, baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya; era boogerenga nti, “ Mukama agulumizibwe, asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abo abaagala nsinge omusango. Era boogerenga bulijjo nti, Mukama agulumizibwe, Asanyuka okulaba ng'omuddu we ng'awangudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaagala nsinge omusango baleekaane olw'essanyu, bajaguze, era bagambe bulijjo nti: “Mukama agulumizibwe, asanyuka okulaba omuweereza we ng'awangudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu: Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe, Asanyukira omukisa ogw'omuddu we.