Psalms 35:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baswale, ensonyi zibakwate, abo abanoonya obulamu bwange; bazzibweyo ennyuma nga baswavu, abo abategeka okunzikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe era baswazibwe; abo abateesa okunsanyaawo bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakwatibwe ensonyi baswale, Abaagala okunzita, Bazzibwe emabega nga basobeddwa abateesa okunkola akabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagala okunzita bakwatibwe ensonyi baswale, abateesa okunkolako akabi bazzibweyo emabega nga basobeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakwatibwe ensonyi baswazibwe abanjigganya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma beeraliikirizibwe abateesa okunkola obubi.