Psalms 35:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bankweka ekitimba kyabwe awatali nsonga, obulamu bwange baabusimira obuya awatali nsonga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze, ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bantega ekitimba, Awatali nsonga, Baasima obunnya mbugwemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bantega ekitimba kyabwe awatali nsonga, baasima obunnya mbugwemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga awatali nsonga bankisizza mu bunnya ekyambika kyabwe, Awatali nsonga basimidde emmeeme yange.