Psalms 36:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi za Katonda; amateeka go ng'eddubi ery'amaanyi; Ayi Mukama, okuuma abantu n'ebisolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisa kyo, Ayi Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abantu baddukira gy'oli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ekisa kyo kya muwendo nnyo, era abantu baddukira gy'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo.